Psalms 78

Oluyimba lwa Asafu.

1 aMuwulire okuyigiriza kwange mmwe abantu bange,
musseeyo omwoyo ku bye njogera.
2 bNdyogerera mu ngero,
njogere ebintu eby’ekyama ebyaliwo edda,
3 cebintu bye twawulira ne tumanya;
ebintu bajjajjaffe bye baatutegeeza.
4 dTetuubikisenga baana baabwe,
naye tunaabuuliranga buli mulembe ogunnaddangawo
ebikolwa bya Mukama eby’ekitalo,
n’amaanyi ge n’ebyamagero bye yakola.
5 eYawa Yakobo ebiragiro,
n’ateeka amateeka mu Isirayiri;
n’alagira bajjajjaffe
babiyigirizenga abaana baabwe,
6 fab’omu mulembe oguliddirira nabo babimanye,
n’abaana abalizaalibwa,
nabo babiyigirize abaana baabwe,
7 gbalyoke beesigenga Katonda,
era balemenga okwerabira ebyo byonna Katonda bye yakola;
naye bagonderenga ebiragiro bye.
8 hBaleme okuba nga bajjajjaabwe,
omulembe ogw’abakakanyavu
era abajeemu abatali bawulize,
ab’emyoyo egitali myesigwa eri Katonda.

9 iAbaana ba Efulayimu abaalina obusaale obw’okulwanyisa,
naye ne badduka mu lutalo,
10 jtebaatuukiriza ndagaano ya Katonda;
ne bagaana okugondera amateeka ga Mukama.
11 kBeerabira ebyo bye yakola,
n’ebyamagero bye yabalaga.
12 lYakola ebyamagero mu maaso ga bajjajjaabwe nga bali
mu nsi y’e Misiri, mu kitundu kya Zowani.
13 mEnnyanja yajaawulamu,
amazzi ne geetuuma ebbali n’ebbali ng’ebisenge.
14 nEmisana yabakulemberanga n’ekire,
n’ekiro n’abakulemberanga n’empagi ey’omuliro.
15 oYayasa enjazi mu ddungu,
n’abawa amazzi amangi agaali ng’agava mu buziba bw’ennyanja.
16Yaggya ensulo mu lwazi,
n’akulukusa amazzi ng’emigga.

17 pNaye bo ne beeyongera bweyongezi okwonoona,
ne bajeemera Oyo Ali Waggulu Ennyo nga bali mu ddungu.
18 qNe bagezesa Katonda mu bugenderevu,
nga bamusaba emmere gye baalulunkanira.
19 rEra ne boogera ku Katonda; nga bagamba nti,
“Katonda asobola okutuliisiza mu ddungu?
20 sWeewaawo yakuba olwazi,
amazzi ne gakulukuta ng’emigga;
naye anaatuwa emmere?
Anaawa abantu be ennyama?”
21 tAwo Mukama bwe yawulira ebyo n’asunguwala nnyo;
omuliro gwe ne gwaka ku Yakobo,
n’obusungu bwe ne bubuubuukira ku Isirayiri.
22 uKubanga tebakkiriza Katonda,
era tebeesiga maanyi ge agalokola.
23 vNaye era n’alagira eggulu;
n’aggulawo enzigi z’omu ggulu.
24 wN’abaweereza maanu okuva mu ggulu balye.
Yabawa emmere eyava mu ggulu.
25Abantu ne balya emmere ya bamalayika;
Mukama n’abawanga emmere nnyingi eyabamaliranga ddala.
26 xN’akunsa empewo ey’Ebuvanjuba okuva mu ggulu,
era n’aweereza empewo okuva obukiika obwaddyo n’amaanyi ge.
27Yatonnyesa ennyama okuva mu ggulu ennyingi ennyo ng’enfuufu;
n’abaweereza n’obunyonyi enkumu ennyo ng’omusenyu gw’okulubalama lw’ennyanja.
28Ebyokulya ebyo n’abisuula wakati mu lusiisira lwabwe;
okwetooloola eweema zaabwe.
29 yAwo ne balya ne bakkuta nnyo;
kubanga yabawa kye baali bayaayaanira.
30 zNaye bwe baali nga bakyalulunkana,
nga n’emmere ekyali mu kamwa kaabwe,
31 aaobusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirako,
n’abattamu abasajja abasinga amaanyi;
abavubuka ba Isirayiri ne bazikirizibwa.

32 abNaye newaakubadde ebyo byonna byabatuukako, kyokka beeyongera okwonoona;
newaakubadde nga yabakolera ebyamagero, naye tebakkiriza.
33 ac Mukama kyeyava asala ku myaka gyabwe,
n’abaleetako okuzikirizibwa okw’amangu era okw’entiisa.
34 adBwe yattanga abamu ku bo, ne balyoka bamunoonya,
ne beenenya ne badda gy’ali.
35 aeNe bajjukira nti Katonda lwe Lwazi lwabwe;
era nti Katonda Ali Waggulu Ennyo ye Mununuzi waabwe.
36 afKyokka baamuwaananga n’emimwa gyabwe,
nga bwe bamulimba n’ennimi zaabwe,
37 agso tebaali beesigwa mu mitima gyabwe,
era nga tebatuukiriza ndagaano ye.
38 ahNaye ye n’abakwatirwanga ekisa
n’abasonyiwanga,
n’atabazikiriza;
emirundi n’emirundi ng’akoma ku busungu bwe,
n’atabamalirako kiruyi kye okubazikiririza ddala.
39 aiYajjukira nga baali mubiri bubiri;
ng’empewo egenda n’etedda!

40 ajBaamujeemeranga nnyo bwe baali mu ddungu;
ne banakuwaza nnyo omutima gwe.
41 akNe baddamu ne bakema Katonda,
ne banyiiza Omutukuvu wa Isirayiri.
42Tebajjukira buyinza bwe;
wadde olunaku lwe yabanunulirako mu mikono gy’omulabe;
43bwe yalaga obubonero bwe mu Misiri,
n’ebyamagero bye mu kitundu kya Zowani,
44 alyafuula amazzi g’emigga gyabwe omusaayi,
ne batanywa mazzi gaagyo.
45 amYabaweereza agabinja g’ensowera ne zibaluma,
n’abaweereza n’ebikere ne bibadaaza.
46 anEbirime n’ebibala byabwe yabiwa enzige
ne bulusejjera.
47 aoYazikiriza emizabbibu gyabwe n’omuzira,
era ne gukuba n’emisukomooli gyabwe.
48 apYatta ente zaabwe n’amayinja g’omuzira;
n’ebisibo byabwe ne bittibwa eraddu.
49 aqObusungu bwe obungi bwababuubuukirako,
n’ekiruyi kye n’obukambwe ne bibamalamu ensa.
N’alyoka abasindikira ekibinja kya bamalayika okubazikiriza.
50Yabalaga obusungu bwe,
n’atabasonyiwa kufa,
n’abasindikira kawumpuli.
51 arYatta ababereberye bonna ab’omu Misiri,
nga be bavubuka ab’ebibala ebibereberye eby’omu nnyumba ya Kaamu.
52 asN’alyoka afulumya abantu be ng’endiga,
n’abatambuza mu ddungu ng’ekisibo.
53 atN’abaluŋŋamya mu mirembe nga tebatya,
ennyanja n’esaanyaawo abalabe baabwe.
54 auN’abatuusa ku nsalo y’ensi entukuvu;
ku lusozi lwe yeewangulira, n’omukono gwe ogwa ddyo.
55 avYagobamu amawanga nga balaba,
n’abagabanyiza ebitundu by’ensi eyo;
n’atuuza bulungi ebika bya Isirayiri mu maka gaabyo.
56Naye era ne bakema Katonda;
ne bamujeemera oyo Ali Waggulu Ennyo,
ne bagaana okugondera ebiragiro bye.
57 awNe bamuvaako ne baba bakuusa nga bajjajjaabwe bwe baali,
ne baggwaamu obwesigwa ng’omutego gw’obusaale omukyamu.
58 axKubanga baasunguwaza Katonda olw’ebifo ebigulumivu bo bye beegunjira okusinzizangamu,
ne bamukwasa obuggya olwa bakatonda baabwe abalala.
59 ayKatonda bwe yabiraba n’asunguwala nnyo, n’aviira ddala ku Isirayiri.
60 azN’ava mu weema ey’omu Siiro
Siiro kye kyali ekifo ekitukuvu awasinzibwanga edda mu biro bya Yoswa. Kyali mu bitundu bya Efulayimu wakati wa Beseri ne Sekemu. Essanduuko y’Endagaano yaterekebwanga eyo okutuusa mu biro bya Samwiri; kyokka Abafirisuuti baakizikiriza
,
eweema mwe yabeeranga ng’ali mu bantu be.
61 bbN’awaayo amaanyi ge mu busibe,
n’ekitiibwa kye n’akiwaayo eri omulabe.
62Abantu be yabaleka ne battibwa n’ekitala,
n’asunguwalira omugabo gwe.
63 bcOmuliro ne gusaanyaawo abavubuka baabwe abalenzi,
ne bawala baabwe ne babulwa ow’okubawasa.
64 bdBakabona baabwe battibwa n’ekitala, ne bannamwandu baabwe tebaasobola kubakungubagira.

65 beAwo Mukama n’alyoka agolokoka ng’ali nga ava mu tulo,
ng’omusajja omuzira azuukuka mu tulo ng’atamidde.
66 bfN’akuba abalabe be ne badduka;
n’abaswaza emirembe gyonna.
67 Mukama yaleka ennyumba ya Yusufu,
n’ekika kya Efulayimu n’atakironda;
68 bgnaye n’alonda ekika kya Yuda,
lwe lusozi Sayuuni lwe yayagala.
69N’azimba awatukuvu we ne wagulumira ng’ensozi empanvu;
ne waba ng’ensi gye yanyweza emirembe gyonna.
70 bhYalonda Dawudi omuweereza we;
n’amuggya mu kulunda endiga.
71 biAve mu kuliisa endiga,
naye alundenga Yakobo, be bantu be,
era alabirirenga Isirayiri omugabo gwe, gwe yeerondera.
72 bjN’abalabirira n’omutima ogutaliimu bukuusa,
n’abakulembera n’amagezi g’emikono gye.
Copyright information for LugEEEE